Indirimbo ya 9 mu CATHOLIC LUGANDA
9. LEERO TULI MU SSANYU
Ekidd: | |
: Leero tuli mu ssanyu, ffenna tuli mu ssanyu Mu maaso ga Kitaffe Katonda (x2) Tumusinze Nnannyini nsi, tumutende nnannyini nsi, Tumwebaze by’atuwa Katonda, Mu Kitambiro Kristu mw’atugasse ffe abantu. | |
1. | Ekibiina kisanyuka, anti Kristu ali naffe, Ffe Kristu alabika, ffe Kristu aweereza Patri, Ekitambiro ekimusanyusa; mujje b‟amanyi ntujjo, Ensi n‟eggulu yimba, mujje b‟amanyi ntujjo, Ensi n‟eggulu sinza. |
2. | Ekibiina kijaguza, anti Kristu ali naffe, Ffe ggwanga erisoma, ffe Kristu aweereza Patri, Ekitambiro eky‟olubeerera. Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu yimba Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu sinza. |
3. | Ekibiina kizimbibwa ku oyo Kristu eyatuganza Kristu ye ntabiro, nga nnywevu ennyumba ya Kristu Eyazimbibwa Mwoyo agituulamu. Mwenna b‟ayise abangi, mujje mwebaze Ddunda, Mwenna b‟ayise abangi, mujje mwebaze Ddunda. |
4. | Ekibiina kisanyuka, anti Kristu yatugamba: “Nywera nze nkomawo, ndidda nze ne nkutuusa eyo, Mu kujaguza okw‟olubeerera.” Mwenna abamanyi Yezu, mujje twebaze Ddunda. x2 |
By: Fr. James Kabuye |