Indirimbo ya 95 mu CATHOLIC LUGANDA
95. ABALAMAZI MUJJE TULYE ENTANDA
Ekidd: | |
:Abalamazi mujje tulye entanda, abalamazi mujje tulye Ku mugaati gw’obulamu Kristu Yezu Ku mbaga ye atuyita Ffenna Ku kijjulo Kristu Yezu Kye kijjulo eky’obulamu obw’olubeerera. | |
1. | Mujje abange mujje, mulye ku mugaati guno Munywenga evviini eno bwe bulamu obw‟olubeerera. |
2. | Mujje mbayita mujje, ku kijjulo kye nfumbye Alya ennyama yange alya ntanda ya bulamu obw‟olubeerera. |
3. | Bajjajjammwe baalya mmanu mu ddungu, kyokka baafa Wabula guno gwe mugaati gw‟obulamu obw‟olubeerera. |
4. | Alya ennyama yange mbeera mu ye, anywa omusaayi gwange Mbeera mu ye naye mu nze ndimuzuukiza ku lwoluvannyuma. |
5. | Ka tulye Ennyama yo, ffe abakumanyi, ka tunywe omusaayi gwo Ffe abakumanyi Ggwe Mukama olituzuukiza ku lwoluvannyuma. |
6. | Ffenna twesiga abakumanyi, ffenna tukakasa nga abakunywererako Ggwe Omukama olituzuukiza ku lwoluvannyuma |
By: Benedicto Lubega |