Indirimbo ya 96 mu CATHOLIC LUGANDA
96. ALI WAGGULU
Ekidd: | |
:Ali waggulu eyantonda nnyini buyinza ali na wano, Ye nno ali mu ggulu ne mu nsi oyo ow’ekitiibwa gwe nzirinngana. | |
1. | Bannange, Katonda yeebale Ali waggulu….. Twesiimye abatonde ffenna Tatuvaako emisana n‟ekiro. |
2. | Ndabira wa Omutonzi wange, Ali waggulu….. Kirimaanyi, omutamanyiirwa Ndabira wa omulungi, Taata. |
3. | Ggwe amyansa okusinga n‟enjuba Ali waggulu….. Lwaki nno sikulaba nze? Amaaso ganzibule Ggwe! |
4. | Wanneewa ku lwa mukwano Ali waggulu….. Wampa ensi eno n‟ogiyonja Ko n‟eggulu eryo n‟oliwunda. |
5. | Mbonaabona ku lwa kuba ki? Ali waggulu….. Siri mulekwa anti n‟akamu nze Obunaku musango gwange. |
6. | Tusanyuke, tujaguzenga, Ali waggulu….. Twagalane basseruganda; Tatuli wala, Omuzadde waffe. |
7. | Ffenna abaagalwa, tusinze Ali waggulu….. Ffe tuvuze eddoboozi wonna; Amiina! Alleluia! |
By: Joseph Kyagambiddwa |